Villa kati yabawagizi- Nkemba

Okusinziira ku Eng William Nkemba ng'ono yemukulembeze wa kakiiko akekiseera akaalondobwa okuttaanya obukulembeze bwa kiraabu, okuwandiika ba memba kutandika nga 30 ogwekkumi, 2020.

0
Advertisement

Emu ku kirabu z’omupiira esinga obututumufu mu Uganda SC Villa kikasiddwa nga yakudda mumikono gy’abawagizi okutandika ne sizoni ejja.

Okusinziira ku Eng William Nkemba ng’ono yemukulembeze wa kakiiko akekiseera akaalondobwa okuttaanya obukulembeze bwa kiraabu, okuwandiika ba memba kutandika nga 30 ogwekkumi, 2020.

Advertisement

Nga ayogerako eri abamawulire ku Sheraton hotel ku Lw’okusatu, Eng Nkemba ategezeezza nti musanyufu okukulembera akakiiko akafubye okutebenkeza obukulembeze bwa Villa.

“Ndi musanyufu okubeera ekitundu ku kakiiko akakoze eddimu eddene ery’okutebenkeza Villa,” Eng. Nkemba.

Villa ebadde mumigozobano gy’obukulembeze wamu n’obwannanyini okumala ebbanga ddene wabula nga kati okusinziira ku Eng Nkemba kigenda kuggwa.
Bano nga bakawangula Liigi ya Uganda emirundi 16, kigambibwa nti batandika mu 1975 nga Nakivubo Boys.

Oluvanyuma, betuuma Nakivubo Villa mu 1979 eyeyubula neefuuka SC Villa.

Okwagala okwewala ebyo ebibaddewo emabega, Eng Nkemba agamba nti basazeewo okudda kunono za kiraabu nga bweyali mu 1975.

Ayongeddeko nti, “SC Villa kati egenda kubeera ya lukiiko lwa bawagizi (Members’Trust) era ba memba beebo abaanaba nga basasudde 50,000 egya Uganda buli mwaka.”

Eng Nkemba ategezeezza nti bamemba bajja kulondanga pulezidenti wa kiraabu buli luvanyuma lwa myaka ena (4). Era, bamemba bano, agambye bakulabanga emipiira gya Villa egyawaka gyonna.

Advertisement
KAMPALA BUSINESS RADIO