Kabaka ayanukudde abamubika, abalonzi abalaze ekubo

Okuwabula kuno, Beene akukoledde mu Lubiri lwe e Mmengo leero ku Lwokuna, bw’abadde alabiseeko eri Obuganda okukuza olunaku lwa gavumenti ez’ebitundu wamu ne Bulungibwansi mu Buganda.

0

Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi ll awabudde abantu ba Buganda okutunulira abeesimbyewo enkaliriza mu kulonda kwa bonna okwa 2021.

“Tusaba abalonzi mutunuulire nnyo abo abasobola okukulaakulanya omuntu wa bulijjo n’okulwanirira ebintu ebikulu Buganda bye yettanira.” Ssaabasajja Kabaka bw’alambise.

Okuwabula kuno, Beene akukoledde mu Lubiri lwe e Mmengo leero ku Lwokuna, bw’abadde alabiseeko eri Obuganda okukuza olunaku lwa gavumenti ez’ebitundu wamu ne Bulungibwansi mu Buganda.

Kabaka asinzidde ku mukolo guno n’asekerera abamubika gyebuvuddeko n’ategeeza nti akyaliwo nnyo era ng’alamula.

Omuteregga agambye nti buli Ameefuga lwe gatuuka, gajjukiza Abaganda okusoomoozebwa kwe bayiitamu okuva ku bazungu olw’ebintu ng’effutwa n’obukyayi ebyakolebwanga n’ebirala bikyakolebwa.

Newankubadde bino byonna byakolebwa kusaanyaawo Buganda,  Empologoma egamba nti byamaliriza binyize n’ebintu ebirala ebya Uganda, n’etegeeza nti ekinaamalawo obulumi buno y’enfuga eya Federo.

“Ffe tulowooza nti okumalawo ebiwundu bino byonna, n’okwongera okunyweza obumu bwa Buganda n’ebitundu ebirala, twetaaga obufuzi obujjudde obwenkanya, obugoberera amateeka n’okugabana obuyinza nga tugoberera ebyetaago bya buli kitundu.” Musota bw’ategeezezza.

Kabaka nga akwaasa ab’e Mawokota abawungudde empaka za gavumenti ez’ebitundu mu 2020| Ekif Buganda Kingdom Media.

Era ku mukolo gwegumu, Kabaka yeebuuzizza lwaki waliwo abantu abatakwatibwako nga bano beesomye okusaanyaawo obutonde bw’ensi wabula ng’ekitongole kya NEMA tekirina kye kikolawo wadde nga waliwo amateeka.

Kabaka awadde gavumenti amagezi etuukirize ekisuubizo ky’amasannyalaze mu byalo ate era ekendeeze ne ku musolo oguggyibwa ku bintu by’amasannyalaze g’enjuba, kiyambe okukendeeza abatema emiti nga banoonya eby’okufumbisa.

Asabye abaami b’Amasaza okukola obutaweera okulaba nga bataasa obutonde bw’ensi nga bakunga n’okugatta abantu be, bafuuke omuntu omu.

Maasomoogi asiimye abantu be olw’okugoberera amateeka agatangira ekirwadde kya Covid-19 era n’abalagira obutagayaala okutuusa nga olutalo ku kirwadde kino luwanguddwa.


OKWOGERA KWA KABAKA MUBUJJUVU:

Buli lwetukuza olunaku lwa Bulungibwansi tuddamu okujjukira okusomoozebwa Buganda kweyiseemu okuviira ddala nga tetunnafuna bwetwaze n’okutuuka leero.

Ebintu bingi ebyakolebwa, efutwa, obuggya, obukyayi era ebimu bikyagenda mu maaso n’okutuuka kati.

Newankubadde bino byonna byagenderera kusaanyawo Buganda naye byanyiga n’ebitundu ebirala ebya Uganda, ffe tulowooza nti okumalawo ebiwundu bino byonna n’okwongera okunyweza obumu bwa Buganda n’ebitundu ebirala,  twetaaga obufuzi obujjudde obwenkanya, obugoberera amateeka n’okugabanya obunyiiza nga tugoberera ebyetaago bya buli kitundu.

Bwetudda ku nsonga y’obutonde bwensi, tulaba ebintu bingi ebiraga obutaba na mwoyo gwa Ggwanga nga bikolebwa ba nnantagambwako.

Abamu kuffe twewuunya nti ensi yaffe erina amateeka n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bwensi, amateeka gano gakola ddi era kwani? Gakoma awo mu makkati?.

Tusaba Gavumenti okubunyisa amasannyalaze mu byalo nga bweyasuubiza era n’okukendeeza emisolo ku bikola amasannyalze ag’enjuba.

Kino kijja kuyamba abantu baffe naddala abali mu byalo okukendeeza ku kutema emiti nga banoonya eby’okufumbisa.

Nga maliriza nsaba abaami bakole butaweera okulaba nga obutonde bwensi bulwanirirwa, emirimu gino gyonna tusobola okujikola kasita tuba nga twegasse, jjuuzi ndowooza mwawulira nti waliwo abaali bagambye nti bambise nti ngeeze emagombe sikyali kunsi nti ebyange biwedde naye nga bwemulaba, nkyaliwo, bino byonna tusobola okubituukako singa tusobola okwegatta okukolera awamu n’okuba nga tuli muntu omu.

Nga bwetutuuse mu kiseera eky’okulonda, tusaba abalonzi mutunuulire nnyo abo abasobola okulaakulanya omuntu wa bulijjo n’okulwaniriria ebintu ebikulu Buganda byeyettanira.

Neebaza nnyo abateeseteese omukolo ogw’omwaka guno abo bonna aboogedde ebigambo ebirungi eby’enjawulo n’okuddamu okukulisa abawokota olw’obuwanguzi naabo abafunye ebirabo. Mwebale nnyo mwebalire ddala.

KAMPALA BUSINESS RADIO