Omubiri gwa Seya gwaziikiddwa naye omwoyo gwasigadde ku City Hall

Nga tanalwaala, Seya nga abasinga bwebabadde bamumanyi, yali alaze obwetaavu okuvuganya ku kifo kino ku bendera ya NUP.

0
Advertisement

Omubaka wa Kyaddondo East mu Palamenti era nga yakulembera ekibiina kya National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu ( Bobi Wine ) agambye nti yali awadde omugenzi Al Hajj Nasser Ntege Ssebagala amagezi aleme kwesimbawo ku bwa Loodi Meeya we Kampala.

Bweyabadde ayogerako eri abakungubazi mukuziika Ssebaggala eggulo e Kisaasi mu Kampala, Bobi Wine yagambye nti bino yabimugambira mu makaage e Magere omugenzi bweyali amukyaliddeko.

Advertisement

Nga tanalwaala, Seya nga abasinga bwebabadde bamumanyi, yali alaze obwetaavu okuvuganya ku kifo kino ku bendera ya NUP.

Seya yalwaala natwalibwa mu ddwaliro ya Kampala International Hospital ng’eno gyeyafiira kunkomerero ya Sebutemba.

Wabula nga tanafa, mutoowe era nga ye mubaka wa Kawempe North Latif Ssebagala Sengendo yasembebwa aba NUP abakikirire mukuvuganya ku bwa Loodi Meeya.

Ssebaggala ng’ono yali awangudde omuyimbi Joseph Mayanja amanyiddwa ennyo nga Chameleon oluvannyuma yawanduka mulwokaano.

Kino kyawaliriza abakulu mu NUP okuddamu okuyigga anaabakikirira era nebalonda Omubaka omukyala owa Kampala Naggayi Nabilah Sempala.

Okumanya nga Seya abadde ayagala nnyo okuvuganya ku kifo kino, mutabaniwe Abdul Gamel Nasser Sebaggala yategeeza abakungubazi nti kitaawe newankubadde yali muyi era ngaali ku macupa, yabakakasanga nti yalina okwesimbawo!

Mutabani wa Seya yawunikirizza abantu bweyategezezza nti taata we nga tanafa enaku bbiri emabega, yamulagira aleete kinyoziwe amuyoyoote. Byeyamubuuza lwaki, mbu namusaba amuyitire abakulu ba NUP bamusunsulire muddwaliro!

Yagambye nti abakulembeze ba NUP bwebalemererwa okugenda muddwaliro, Ssebaggala yalagira aba famire bakolagane n’ekibiina bateeketeeke okusunsula okwokumutimbagano gwa zoom.

Wabula, Abdul Nasser yagambye nti bino byonna byagaana era mukadde waabwe ng’ono yaliko Meeya wa Kampala emabega,nabalagira batwaale ebiwandiko bye mu kakiiko k’ebyokulonda awandisibwe kubwannamunigina. Kyokka kino tekyasobose oluvannyuma lwa Ssebaggala okussa omukka ogw’enkomerero mu biseera byennyini eby’okwewandiisa.

Advertisement
KAMPALA BUSINESS RADIO