Uganda vs S.Sudan: Cranes eyingidde enkambi

Uganda ekulembedde ekibinja B n'obubonero buna ( 4) okuva mu mipiira ebiri. Burkina Faso eri mu kyakubiri ku bubonero bwebumu ng'ate Malawi yakusatu ku bubonero busatu (3) so ng'ate South Sudan yekobeede nga terinayo kabonero konna

0
Advertisements
Advertisements

Abazannyi 13 bano nga bazanyira waka, olunaku lwaleero bayingidde enkambi okwetegekera omupiira gw’okusunsulamu abanetaba mu mpaka za Africa eza 2022 wakati wa Uganda ne South Sudan.

Abazannyi bano wamu nabakungu 8 bakusuzibwanga ku Cranes Paradise hotel e Kisaasi. Basubirwa okuvaawo ku Sande eno bolekere Dubai gyebanegatirwaako bannaabwe abagucangira e Bunayira olwo bakub’eyo enkambi.

Okusinziira ku mikutu gya Fufa emitongole, Abazannyi baatukidde mu lukiiko olw’okubabangula ku bikwaata ku kirwadde ki Covid-19.

Omutendesi Jonathan McKinstry abasabye okuba abakujjukujju era nabakubiriza okugoberera ebiragiro mukwetangira Covid-19.

Abazannyi n’abakungu bonna bagenda kukeberebwa ekirwadde ki Covid-19 oluvanyuma bayingizibwe mu busenge jebanamala essaawa 48.

Uganda ekulembedde ekibinja B n’obubonero buna ( 4) okuva mu mipiira ebiri. Burkina Faso eri mu kyakubiri ku bubonero bwebumu ng’ate Malawi yakusatu ku bubonero busatu (3) so ng’ate South Sudan yekobeede nga terinayo kabonero konna

Abazannyi abali munkambi:

Abakwaasi ba ggoolo: Charles Lukwago (KCCA FC), Joel Mutakubwa (Kyetume FC), Nafian Alionzi (URA FC)

Abazannyi abalala: Milton Karisa (Vipers SC), David Owori (SC.Villa), Bright Anukani (KCCA FC) Saidi Kyeyune (URA FC), Paul Mbowa (URA FC), Samuel Kato (KCCA FC), Halid Lwaliwa (Vipers SC), Ibrahim Orit (Vipers SC), Shafiq Kagimu (URA FC), Karim Watambala (Vipers SC)

Abakungu: Jonathan Mckinstry (Head Coach), Abdallah Mubiru (1st Assistant coach), Charles Livingstone Mbabazi (2nd Assistant coach), Ibrahim Mugisha (Goalkeeping coach), Nakabago (Team Doctor), Ayub Balyejusa (Equipment Manager), Paul Mukatabala (National teams officer), Ronald Lusulire (Media officer)

Advertisements