Moses Kibalama: Eyali omukulembeze wa NUP awunikirizza Kooti

Omulamuzi Ssekaana omusango agwongeddeyo okutuuka nga 16/October/2020 n’asaba abawawaabirwa okuteekayo okwewozaako kwabwe nga 5/October/2020.

0
Advertisement

Eyali Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity & Reconcilliation Platform (NURP), ekyafuuka ‘National Unity Platform (NUP)’, Moses Nkonge Kibalama, atuuyanidde mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti enkulu Musa Ssekaana, bannamateeka ba Kyagulanyi bwe babadde bamukunya ku birayiro ebibiri bye yakola nga bikontana.

Kibalama asinzidde mu kkooti eno n’akkiriza okusisinkana Omuduumizi w’eggye lya UPDF, Gen. David Muhoozi bwe yali akwatiddwa era ng’ono yamubuuza ku nsonga ezikwatagana n’okukyusa ekibiina kye erinnya.

Advertisement

Ayongeddeko nti era baayogera ku butakkaanya bwe yali afunye n’obukulembeze bwa National Unity Platform obuggya obukulirwa Robert Kyagulanyi (Bobi Wine).

Kkooti yafulumya ekibaluwa kibakuntumye ku Kibalama ajje agitangaaze ku birayiro ebibiri. Ebirayiro bino, ekimu kyali kiraga okukyusa obukulembeze n’erinnya ly’ekibiina nti byakolebwa mu butuufu ate ng’ekirala kiwakanya ebyakolebwa nti byali bikyamu.

Oluvannyuma lwa Munnamateeka Medard Sseggona okumukunyiza ekiseera, Kibalama yeegaanye eby’okusaba Bobi Wine obuwumbi bwa ddoola butaano z’agamba nti yali yazimusuubiza wadde ng’emabegako yafulumya akatambi akabanja Bobi Wine.

Kibalama Ategeezezza kkooti nti ensisinkano ye ne Gen. Muhoozi yaliwo oluvannyuma lw’okumukwata wabula agaanye okwogera ebisingawo ku bye baateesaako oba ekifo we baasisinkana. Wabula abuulidde kkooti nti okuva ku olwo yalemererwa okuddayo ewuwe.

Wabula Kibalama yeegaanye eby’okusisinkana akulira ekitongole ekikkesi ekya ISO, Col. Kaka Bagyenda, wadde nga wiiki bbiri nnamba azimaze akuumirwa mu kifo ky’agaanye okwatula e Mbale era ng’abadde akuumibwa amagye agakuuma Pulezidenti.

Bw’abuuziddwa Sseggona obanga yali asabyeko obukuumi okuva mu bitongole ebyokwerinda, Kibalama agaanye n’ategeeza nti naye yalabirako nga bamutwala.

Mw. Moses Nkonge Kibalama ng’ayanukula ebibuuzo okuva muba nnamateeka ba Robert Kyagulanyi.

Kibalama bw’abuuziddwa engeri gye yafunyemu ekiwandiiko ekyabadde kimuyita mu kkooti ategeezezza nga bwe waliwo omuntu eyakukusizza olupapula lw’amawulire n’alumutwalira era we yategeeredde nti kkooti emwetaaga.

“Waliwo omuntu eyakukusizza olupapula lw’amawulire n’aluleeta we nabadde, bwentyo bwe nategedde nti kkooti enneetaaga.” Kibalama bw’agambye.

Ebya Kibalama bwe biwedde, olwo bannamateeka nebatandika okukunya munywanyi we, Paul Ssimbwa Kagombe bwe baatandika ekibiina kino era naye n’akakasa nti abadde akuumirwa Mbale era ng’abeebyokwerinda be bamulina.

Kyokka Kibalama asanze akaseera akazibu okunnyonnyola kkooti engeri gye yateeka omukono gwe ku birayiro ebibiri ebyakolebwa ku lunaku lwe lumu wabula nga buli kimu kikontana n’ekirala.

Sseggona asoose kutegeeza kkooti nga Kibalama bwe yakuba ebirayiro ng’ayitira mu bannamateeka ba Lukwago & Co. Advocates ng’ennaku z’omwezi 14/ September/2020 ku ssaawa bbiri ez’ekiro ng’akakasa nti okukyusa erinnya n’okukyusa obukulembeze byakolebwa mu mateeka.

Wabula Bannamateeka balaze ekiragiro ekirala kye yateekako omukono ku lunaku lwe lumu ku ssaawa 10 ez’olweggulo nga kiwakanya eby’okukyusa obukulembeze n’erinnya ly’ekibiina.

Ku kino Sseggona ategeezezza kkooti nti tekisoboka kubanga Kibalama yali tasobola kukuba kirayiro kisazaamu kino ku ssaawa 10 ez’olweggulo nga kisazaamu ekyakolebwa ku ssaawa 2 ez’ekiro kubanga mu budde obwo kyali tekinnakolebwa.

Kibalama akkiriza okuwa akakiiko k’ebyokulonda amawulire amakyamu bwe kaali kakkiriza okukyusa obukulembeze n’erinnya ly’ekibiina.

Wano bannamateeka ba NUP nga bakuliddwa Sseggona basabye omulamuzi Musa Ssekaana, Kibalama atwalibwe ewa Ssaabawabi wa gavumenti avunaanibwe kubanga abadde alimba kkooti ate nga abadde alayidde okwogera amazima.

Omulamuzi Ssekaana omusango agwongeddeyo okutuuka nga 16/October/2020 n’asaba abawawaabirwa okuteekayo okwewozaako kwabwe nga 5/October/2020.

Bya Gambuuze

Advertisement
KAMPALA BUSINESS RADIO