Uganda: Abaakafa Covid-19 baweze 69

Olwaleero Uganda ewezezza omuwendo gwa bantu 69 abaakafa ekirwadde ki Covid-19

0

Olwaleero Uganda ewezezza omuwendo gwa bantu 69 abaakafa ekirwadde ki Covid-19.

Kino kiddiridde oluvannyuma lwa Minisitule y’ebyobulamu okakakasa abantu abalala bataano (5) abafudde ekirwadde kino.

Okusinziira ku bubaka obutereeddwa kumutimbagano gwa Minisitule y’ebyobulamu, abafudde bavudde Kapchorwa (2), Kampala (1), Mbale (1) ne Gulu (1).

Mungeri yeemu, Minisitule erangiridde banna Uganda abalala 167 abasangiddwaamu ekirwadde ki Covid-19. Kino kitadde omuwendo gw’abo abalina Covid-19 ku 6,879.

Ku balwadde 167, Kampala erinako 62 ng’ate abalala bavudde mu Kiryandongo (40), Soroti (7), Agago (5), Bundibugyo (5), Mbale (6), Gulu (4), Isingiro (3), Bududa (2), Jinja (2), Lamwo (4), Masindi (2), Buikwe (1), Kaberamaido (1), Koboko (1), Kole (4), Luwero (1), Mukono (2), Nwoya (1), Wakiso (1) ne Terego (1).

Kuliko ne banna Uganda 12 abakomezebwaawo okuva e India ( 11) ne South Sudan (1).

Bbo abasimattuse ekirwadde kino era nebasibuulwa baweze 2,961.

KAMPALA BUSINESS RADIO