Advertisement

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, atenderezza emirimu gy’eyali Minisita wa Kabaka ow’ebyemizannyo Owek. Herbert Ssemakula kati omugenzi era nasaasira ab’enjuuye olw’okuviibwaako omuntu ow’omugaso bwatyo.

Bino, Katikkiro abyogeedde ali mu maka g’Omugenzi Owek. Herbert Ssemakula e Mutundwe mu Lubaga ku Lwokusatu gyabadde agenze okukubagiza.

Advertisement

“Ssentebe eyalondeddwa abadde agamba nti omugenzi yakola nnyo, nanokolayo emipiira gy’Amasaza, amaato n’omupiira mu Kika ky’Olugave naye waliwo n’embiro zeyatandika zebayita Buganda Road Race kwetwazimbira ekirowoozo ky’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka ennaku zino zetudduka,” Mayiga bweyategeezezza.

Owek Herbert Ssemakula ng’akyaali mulamu.

Omukuuma Ddamula akikkatirizza nti ekikulu si bbanga muntu lyamaze mu kifo naye kiki kyasobodde okukolera mu kifo ekyo.

“Ku mitwalo ettaano kumpi ettaano kitundu ku misinde egyasembayo giri ku mwanjo mu misinde Mubunabyalo mu nsi yonna, era akasigo bwojja okanoonya ojja kukalaba mu Ssemakula ow’olugave,” Mayiga bweyagasseeko.

Kamala byonna yategeezezza nti bwebabeera baweereza e Mengo kubeera kussaako ttofaali era nga omugenzi kino yakikola ate nga ayagala nnyo ekika kye.

Katikkiro ajjukizza Obuganda nti emirundi ekika ky’Olugave gyekyasobola okukola obulungi mu mpaka z’ebika owek Ssemakula yali mpagi luwaga.

Amyuka Katikkiro w’ekika ky’Olugave era nga yeyalondeddwa okubeera Ssentebe w’ enteekateeka z’okuziika, Fred Katende Kyekango yategeezezza Katikkiro nti omugenzi abadde yenyumiriza nnyo mu Buganda era nga ayagala nnyo empaka z’amaato wamu n’emipiira gy’Amasaza.

Katende yanyonyodde Katikkiro nti, Olukiiko lwe yawereddwa okukulembera lwasazeewo omugenzi aziikibwe ku biggya bya bajjajabe e Nabalanga mu ggombolola ye Masuulita ku lunaku olw’okutaano.

Omugenzi Ssemakula yafa ku Mmande ya wiiki eno  nga kigambibwa nti yakubibwa Puleesa oluvanyuma lw’okumubikira mwanyina.

Advertisement
KAMPALA BUSINESS RADIO