Musaayi muto Zaga yesigamye ku Police okubbulula ekitone kye

Newankubadde Zaga tafunye kadde Kamala ku kisaawe mu Vipers, ekitone kye tekibusibwabusibwa era nga banna mupiira bangi nga mwemuli n'omutendesi we omujja Abudallah Mubiru babadde bamugoberera okuviira ddala mu 2014 nga akyaali mu Kibuli Senior Secondary School.

0
Advertisement

Frank Tumwesigye nga asinga kumanyibwa nga ‘Zaga’ olwaleero asaze eddiiro ova mu Vipers SC neyeggaatta ku Police FC.

Zaga owemyaaka 21, aweereddwa endagaano ya myaaka ebiri (2) era nga wakuzannyira Police otuuka mu 2022.

Advertisement

Bwabadde ayanjulwa mubutongole, Zaga asuubizza okukola obutebalirira era nga kino, asuubira kyakumuyamba okuzukuusa ekitone kye wamu n’okuyamba ‘club’ okutukiriza ebigendererwa byayo.

“Mpulira bulungi nnyo okweggatta ku Police era mpulira ntuuse awaka. Nsuubira okukulakulanya ekitone kyange era n’okukakasa nti nze ne ‘club’ ffembi tutukiriza ebigendererwa byaffe,” Zaga bwategezezza nga yakamala okuteeka omukono ku ndagaano.

Newankubadde Zaga tafunye kadde Kamala ku kisaawe mu Vipers, ekitone kye tekibusibwabusibwa era nga banna mupiira bangi nga mwemuli n’omutendesi we omujja Abudallah Mubiru babadde bamugoberera okuviira ddala mu 2014 nga akyaali mu Kibuli Senior Secondary School.

Akulira emirimu mu Police FC Fahad Lumu asuubira nti okutabagana kwa Zaga n’omutendesi Mubiru wamu n’abazannyi abalala kwakuvaamu ebibala era nga abawagizi ba ttiimu tebajja kuviraamu awo.

Advertisement
KAMPALA BUSINESS RADIO