Museveni ayise akakiiko ku COVID-19 okusalawo kubya Kampala

Wetwogerera, abantu 25 beebakafa Covid-19 nga ku bano 20 be Kampala.

0
Advertisement

Kikakasiddwa nti omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni wa kusisinkana olukiiko olw’enjawulo olwatekebwawo okulwanyisa ekirwadde ki COVID-19 okuteesa ku muwendo gw’abalwadde n’abafa ekirwadde kino ogweyongera okulinnya buli olukya.

Nampala wa Gavumenti  mu Palamenti Ruth Nankabirwa ategeezezza babaka banne ku Lwokubiri ng’essira bwerigenda okuteekebwa ku banna Kampala abagaanye okugoberera ebiragiro bya minisitule y’ebyobulamu n’okusalawo oba eggwanga lidda mu muggalo oba nedda. Ensisinkano eno esubirwa okubeerawo enkya ku lw’Okusatu mu maka g’obwa Pulezidenti e Ntebbe.

Advertisement

Mungeri yeemu, olwaleero Minisitule ye by’obulamu erangiridde nga abantu abalala babiri (2) bwebafudde ekirwadde ki Covid-19. Abafudde kuliko abakyala babiri (2) okuli ew’emyaaka 70 ne 65 wamu n’omwami omu ng’ono Minisitule egambye wa myaaka 65. Abafudde bonna banna Kampala.

Wetwogerera, abantu 25 beebakafa Covid-19 nga ku bano 20 be Kampala.

Mubuufu bwebumu, Minisitule yeby’obulamu etegezeezza nga abantu 64 bwebasangiddwamu ekirwadde ki Covid-19. Bano bakaakasiddwa okuva mubyavudde mukukebera nga August 24, 2020.

Kubano kuliko banna Kampala 27, 11 bavuudde Arua,  7 be Guru, Wakiso erina 3 nga ate Manafwa, Adjumani ne Zombo balina babiri babiri. Amuru, Buikwe, Hoima, Tororo, Lamwo, ne Lira baafunye omuntu omu buli district.

Abalala kuliko abasawo babiri (2) okuva e Kampala, omuntu omu eyakomyewo okuva e Saudi Arabia wamu n’omuvuzi wa lukululana omu nga yasangiddwa ku nsalo e Malaba.

Advertisement
KAMPALA BUSINESS RADIO