Winnie Nwangi: Akoze ka vidiiyo akakambwe naleka abasajja nga bayiwa endusu

Nwangi amanyiddwa obuteerya ntama ku bikwatagana n'okukola ebyo ye byalowooza nti byebimusanyusa, attaadde akatambi akakambwe ku mikutu gye egya'social media' akalese abasajja nga bayiwa ndusu.

0

Mwana muwala eyakula nawola era nga muyimbi mu Swangez Avenue Winnie Nwangi ( amannya ge amatuufu ye Winnie Nakanwagi azzemu nakikola nga bulijjo.

Nwangi amanyiddwa obuteerya ntama ku bikwatagana n’okukola ebyo ye byalowooza nti byebimusanyusa, attaadde akatambi akakambwe ku mikutu gye egya’social media’ akalese abasajja nga bayiwa ndusu.

Winnie Nwangi nga alaga kyalinawo.

Mu katambi kano, Nwangi mwalabikira ngali mu ggiimu, annyenyeezza ekiwato okukira abonga enje.

Okumanya Nwangi tawena, abadde ayambadde akagoye akaddugavu era nga kamutippye nnyo.

Abawagizi b’omuwala ono bamaze ebbanga ddene nga bamulumba olw’obutambi bbo bwegamba nti bwolesa obuseegu ssaako obukete bweyesala nga enjogera yennaku zino bweeri.

KAMPALA BUSINESS RADIO A Zeno.FM Station