Museveni alagidde Police ekwaate abaabise Kabaka

Museveni agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza, ku bantu bonna abenyigidde mu kutambuza amawulire ag’obulimba ku Kabaka, okuzuula ekigendererwa kyabwe.

0

Omukulembeze w’Eggwanga Yoweri Kaguta Museveni mwennyamivu olwa Bannayuganda, abasukkiridde okweyambisa emitimbagano omuli ogwa Face Book, WhatsApp nemirala mu ngeri  esasamsza wamu n’okuwebuula abakulembeze n’okutuuka okubika Ssaabasajja Kabaka Ronald Edward Frederick Kimera Muwenda Mutebi II.

Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II. ( Tterekero).

Museveni agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza, ku bantu bonna abenyigidde mu kutambuza amawulire ag’obulimba ku Kabaka, okuzuula ekigendererwa kyabwe.

Obutambi obulimu amaloboozi agoogera ebitakwatagana ku bulamu bwa Kabaka Mutebi bumaze akabanga nga busaasanyizibwa ku mikutu gyimujwanira wala ekintu ekyewanisizza Abaganda wamu ne nnaUganda okutwaliza awamu emitima.

Mungeri y’emu, Museveni alabudde bannaUganda okuggya omuzannyo mu kulwanyisa  ekirwadde kya Covid-19.
Abasabye okulabira ku bigenda mu maaso mu mawanga amalala Covid-19 gyatuze abantu okwagala okubamalawo. Agambye nti bannaUganda bagaanye okugondera amateeka omuli okwambala masiki, okunaaba mu ngalo, okwewa amabanga era nti byonna balina okubisasulira.

Museveni agambye nti obulamu businga obugagga kyokka ekyewunyisa bannaUganda bakyaali mukuliisa bijanjaalo mpiso.

Mungeri y’emu agambye nti mu Kampala, Covid-19 ayongedde okusasaana nga kivudde ku bannaUganda obutafaayo n’okuwudisibwa bakulembeze abenonyeeza ebyabwe.

Okubyogera, Museveni abadde eyogerako eri bannaNRM, abatudde mu State House Entebe nga balinze kubategeeza ebivudde mu kulonda kw’olukiiko lw’okuntiko olwa Central Exective Committee (CEC).

Ku nsonga y’okulonda, okwabadde mu ggwanga omuli abakadde, abaliko obulemu n’abavubuka, Museveni asiimye bannayuganda abakyalina obwesiga mu kibiina n’okuddamu okulonda bannakibiina ki NRM.

Agambye nti bannaUganda beeyongedde okwesiga NRM olw’okutambulira ku mulamwa n’okutuukiriza ebisuubizo byayo.

KAMPALA BUSINESS RADIO A Zeno.FM Station