CAF ekakasizza ez’Africa, Uganda ezannya mu November

Nga ekirwadde kya Covid-19 tekinnabalukawo, Uganda yali ku ntikko y'ekibinja n'obubonero 4 okuva mu mizannyo 2. Eddirirwa Burkina Faso, Malawi wamu ne South Sudan abakobeedde.

0

Ekibiina ekiddukanya omupiira ku lukalu lw’Africa, CAF kirangiridde nti okusamba emipiira gy’okusunsulamu abanetaba mu mpaka z’Africa eza 2022 kwaakuddamu mu November.

CAF etegezeezza nti Uganda Cranes yakusamba omupiira ogw’okusatu(3) wamu n’ogwokuna(4) wakati wa November 9 ne 17, 2020. Omupiira ogw’okutaano (5) n’ogwomugaaga (6)  gyakuzannyibwa wakati wa March 22 ne 30, 2021.

Nga ekirwadde kya Covid-19 tekinnabalukawo, Uganda yali ku ntikko y’ekibinja n’obubonero 4 okuva mu mizannyo 2. Eddirirwa Burkina Faso, Malawi wamu ne South Sudan abakobeedde.

Empaka z’Africa zaali zaakuzannyibwa mu 2021 wabula olwekirwadde kya Covid-19, zayongezebwayo kati nga zakubeerayo mu January wa 2022 mu Cameroon.

Mungeri yeemu, n’okusunsula abalyetaba mu mpaka z’Ensi yonna kukakasiddwa nti kwakubeerawo omwaaka oguujja. Omupiira ogusooka n’ogwokubiri gyakubeerayo wakati wa May 31 ne June 15, 2021. Ogw’okusatu n’ogwokuna gyakuzannyibwa wakati wa August 30 ne September 7, 2021. Ate ogw’okukutaano n’ogwomukaaga gyakubaawo wakati wa 4 ne 12 October, 2021.

‘Playoffs’ zakuzanyibwa wakati wa November 8 ne 16 , 2021. 

Uganda Cranes eri mu kibinja E wamu ne Mali, Kenya ne Rwanda.

CAF weyayimiririza emipiira ggyonna, Uganda yali esuliridde kuzannya South Sudan ewakaka ne kubugenyi. Wabula tekimanyiddwa oba nga ‘fixture’  enasigala nga bweyali.