Wadada awangudde e Tanzania

0
Advertisement

Omuzannyi wa Uganda Cranes Nicholas Wadada alondeddwa ku buzibizi bw’omwaka my Liigi ya Tanzania eyonkutikko ( Vodacom Premier League).  Wadada awangudde Bakari Mwamnyeto (Coastal Union FC) ne David Luhende owa Kagera Sugar.

Wabula, kuky’obuzzanyi bw’omwezi ameggeddwa munnansi wa Zambia nga azzanyira, Simba  Clautos Chama.

Advertisement

Sisoni ewedde, Wadada yali wa kubiri mukukolera banne emikisa ( 8 ) egivaamu goolo era naye nateebayo goolo emu.

Sisoni weggwereeddeko, nga Wadada ayambye tiimu ya Azam okukunganya obubonero 70 obwagyiyambye okumalira mu kifo ekyokusatu ku tiimu 20.

Ebirabo ebirala:

Omukuumi wa goolo asinze: Aishi Manula (Simba)

Omuzannyi omuto asinze: Dismus Novatus(Biashara United)

Omutendesi w’Omwaaka: Sven Vandenbroeck (Simba)

Omuteebi asukkulumye ku banne: Meddie Kagere (Simba)

Omuzannyi Owenkizo: Clautos Chama (Simba)

Tiimu ya sisoni: Aishi Manula, David Luhende, Nicolaus Wadada, Bakari Nondo, Pascal Wawa, Zawadi Mauya, Lucas Kikoti, Clatous Chama, Meddie Kagere, John Bocco, Luis Muiquissone

Advertisement
KAMPALA BUSINESS RADIO