Mengo etongozza ekitabo Ettoffaali

0

Eyaliko omumyuka wa Katikkiro era Minisita wa Ssaabasajja Kabaka eyawummula, Owek Ambassador Emmanuel Ssendawula atongozza ekitabo “ETTOFFAALI” ekyawandiikibwa Katikkiro Charles Peter Mayiga nga kiraga ebyaliwo mu kiseera weyatabaala Obuganda okusonda ettoffaali ery’okuzimba Buganda mu ngeri ez’enjawulo.

Bwabadde atongoza, Owek Ssendawula agambye nti Ettoffaali lisobola okuwanirira ensonga y’okuzimba eddwaliro kubanga abantu balyagala nnyo olwembeera yebyobulamu embi mu ggwanga. Ategeezezza nti bwotunuulira ebyakolebwa mu nsimbi ezaava mu ttoffaali kiragira ddala nti nekaweefube w’okuzimba eddwaliro nga tuyita mu nkola yeemu kisobokera ddala.
Ye Katikkiro agambye nti ettoffaali lyali litegeeza kwerwanako ng’abaganda okusobola okudda ku ntikko.

Ssentebe wa Buganda Twezimbe Omuk. John Fred Kiyimba Freeman agambye nti ettoffaali lyaleetawo obumu, okwegatta n’okulaakulana mu bantu ba Buganda.

Omukolo gwetabiddwako, Abamyuka ba Katikkiro, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda n’omumyukawe, Baminisita ba Kabaka, abakiise ku lukiiko lwa Buganda Twezimbe, Abaami ba Kabaka n’abakungu mu biti ebyenjawulo.

KAMPALA BUSINESS RADIO A Zeno.FM Station