EBIFANAANYI: Omuloodi wa Kampala ne Ssenkulu basisinkanye

0
Advertisement

Ssenkulu (Executive Director) wa Kampala omujja Munna mateeka Dorothy Kisaka olwaleero akyaliddeko Omuloodi Erias Lukwago. Kisaka ngayita ku mutimbagano, agambye nti ensisinkana eno ebadde yamugaso nnyo olw’emboozi ku by’okulembeze ne nkulakulana y’Ekibuga Kampala jebabadde nayo.


Kisaka ayongeddeko nti oluvannyuma lwokwogeraganya, Omuloodi ate nga Munna mateeka amulambuzizza ekifo ekijjudde ebibumbe era mukakafu nti ekifo kino kisobola okukumibwa okusobola okukuuma ebyafaayo bye ggwanga.

Advertisement

Kisaka yafuliibwa Ssenkulu we kibuga Kampala mubutongole ku nkomerero ya July oluvannyuma lwokulondebwa omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni.

Ebifanaanyi bya KCCA.

Advertisement
KAMPALA BUSINESS RADIO