Okuddaabiriza enju ya Pokino kutandise

0

Omulimo gw’okuddaabiriza enju ya Pokino entongole;”Buddukiro” gwatandise olunaku lw’eggulo e Buddu.

Enju Eno yeemu kwebyo ebintu Gavumenti ya wakati byeyaddiza Obwakabaka omwaka oguwedde.

Embalirira ya bukadde 275 yeyakolebwa okugiddaabiriza nga bwerwatuukidde eggulo nga bakakungaanya obukadde 6. Mu kutongoza kaweefube ono baakungaanyizza million 15 mubuliwo,3,400,000 mu bikalu ate 31 mu bisuubizo.

Minisitule ya Gavumenti ez’ebitundu n’ekitongole kya Namulondo investments beetabyemu. Pokino Jude Muleke yeeyamye okumaliriza omulimo ku mutindo n’okugoberera obwerufu awamu n’okutambulira ku kulambikibwa kwa Katikkiro ne ba minista abamulungamya.

KAMPALA BUSINESS RADIO