Yogaayoga Beene okutuuka ku matikkira aga 27

0
Advertisements
Advertisements
Kabaka Mutebi/ File.


Enteekateeka z’Amatikkira ziwedde, ekifo kiyoyooteddwa bulungi.

Enkya Obuganda lwebujaguza olwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II okuweza emyaka 27 ng’Alamula Obuganda.

Mu biteeleddwawo kwekuli akuuma akafuuyira ‘sanitizer’ nga omuntu akayimiriramu buyimirizi kko nekakola ogwako. Akuuma kano kaweereddwayo Kampuni ya Tile Center Ltd.

Okusinziira ku Ssentebe w’Enteekateeka Owek David Kyewalabye Male, buli kimu kijiddwako engalo balinda bulinzi Ssaawa emikolo gitandike.

Kinajjukirwa nti Amatikkira g’omwaka guno gaali ga kubeera Ssingo naye olw’embeera eyaleetebwawo ekirwadde kya Covid19 etakkiriza bantu kukungaana bangi, omukolo gwa kubeera mu Lubiri e Mengo nga gusuubirwa okubaako abantu abatasukka 55.

Emyaka 27 n’ebiseera eby’omumaaso:

Mukusaba n’okwebaza okwabaddewo nga July 26 mu Masinzizo agenjawulo, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yagambye  nti ng’Obuganda bujaguza olwa SSaabasajja Kabaka okuweza emyaka 27 ng’atudde ku Nnamulondo ya bajjajjabe, Buganda esaniidde okufuna federo y’ekolere ku nsonga zaayo.

Mububakabwe bweyatisse ba minisita, Oweek. Noah Kiyimba mu kusaba mu Lutikko e Lubaga wamu n’Oweek. David Kyewalabye Male mu kusaba mu maka ga Ssaabalabirizi Dr Steven Kaziimba Mugalu e Namirembe, Mayiga yagambye ebintu ebituukiddwako nga Obwakabaka tebulina federo, kabonero akalaga nti bingi bijja ku kolebwa singa bugifuna.

“Ebirungi Nnamunswa byatutuusizzaako mu myaka 27 bijja kunywezebwa nga tulina eddembe okwekolera ku nsonga zaffe ez’omunda nga tutambulira ku nkola ya federo. Bye tusobodde okukola nga tetulina federo biraga nti bwetunaagabana obuyinza tujja kusobola okukola eby’omugaso ebisingawo,” Mayiga bweyagambye.

Katikkiro yagambye nti ng’Obuganda butambuza omwaka ogwa 28, nga Cuucu alamula, busaana okukuuma n’okunyweza obumu nga bwazze abukubiriza.

Oweek. Noah Kiyimba ng’ayogera mu Lutikko e Lubaga

“Wegiweredde emyaka 27 okuva Nnayinimu lweyava e Naggalabi ng’Obwakaba bweyongedde okubukala mu mitima gy’abantu era tulina obubonero bungi obuggyayo ekifaananyi kyabwo.

Katikkiro yagasseeko nti okujjukira Amatikkira kutuukidde mu kaseera ng’eggwanga liri mu katyabaga ka ssenyiga Kolona.

“Kisaana tugoberere ennambika zonna ezituweereddwa abasawo n’abakulembeze okusobola okulinnya obulwade buno ku nfeete.
Ebirala bya Gambuuze.

Advertisements